Acts 23:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empaka bwe zeeyongera okukaalaama, omukulu w'abaserikale, olw'okutya nti Pawulo bayinza okumutaagulataagula, n'alagira abaserikale okukka, bamubaggyeko, bamuyingize mu kigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe waabaawo okuyomba okungi, omukulu w'abasserikale n'atya ng'alaba Pawulo baagala kumuyuzayuzamu, n'alagira ekitongole okukka wansi okumuggya wakati mu bo n'amaanyi bamutwale mu nkambi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empaka bwe zaakalambira, omukulu w'abaserikale n'atya nti sikulwa nga Pawulo bamukutulamu. N'alagira abaserikale baserengete mu kibiina ky'abantu, bamubaggyeko lwa maanyi, bamutwale mu kigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe waabaawo okuyomba okungi, omwami omukulu ng'atya Pawulo nga bagenda okumukutulamu, n'alagira ekitongole okukka wansi okumuggya wakati mu bo olw'amaanyi, okumuleeta mu kigo.