Acts 23:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kiro ekyaddirira, Omukama n'ayimirira w'ali n'amugamba nti: “Guma; kubanga nga bw'onjulidde mu Yeruzaalemu, bw'olinjulira ne mu Roma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu kiro eky'okubiri, Mukama waffe n'ayimirira w'ali n'agamba nti, “Guma omwoyo: kubanga nga bw'onjulidde wano mu Yerusaalemi, era kikugwanidde n'okunjulira bw'otyo ne Ruumi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiro ekyaddirira, Mukama n'ayimirira awali Pawulo n'amugamba nti: “Guma omwoyo, kubanga nga bwe wammanyisa mu Yerusaalemu, era bw'otyo bw'oteekwa okummanyisa ne mu Rooma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu kiro eky'okubiri, Mukama waffe n'ayimirira w'ali n'agamba nti Guma omwoyo: kuba nga bwe wategeeza ebigambo byange mu Yerusaalemi, era kikugwanidde okutegeeza bw'otyo ne mu Ruumi.