Acts 23:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne bakuŋŋaana, ne bakola olukwe, ne balayira obutalya n'obutanywa nga tebannatta Pawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne balagaana ne beeyama obweyamo nga bagamba nti, tebajja kulya newakubadde okunywa wabula nga bamaze kutta Pawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bateesa ne beerayirira nga bwe bagamba nti tebajja kulya kantu konna wadde okunywa, nga tebanatta Pawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne balagaana ne beeyama obweyamo nga bagamba nti tebajja kulya newakubadde okunywa wabula nga bamaze kutta Pawulo.