Acts 23:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagenda eri bakabona abakulu n'abakadde, ne bagamba nti: “Twerayiridde obutakomba ku kantu nga tetunnatta Pawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo ne bajja eri bakabona abakulu n'abakadde ne bagamba nti, “ Twerayiridde obutakomba ku kantu konna wabula nga tumaze kutta Pawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bagamba nti: “Twerayiridde obutakomba ku kantu nga tetunnaba kutta Pawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo ne bajja eri bakabona abakulu n'abakadde ne bagamba nti Okwekolimira twekolimidde obutakomba ku kantu wabula nga tumaze kutta Pawulo.