Acts 23:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'ayita omu ku basenturiyo, n'agamba nti: “Omulenzi ono mutwale eri omukulu w'abaserikale; alina ky'ayagala okumugamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'ayita omu ku basserikale n'amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuserikale omukulu, kubanga alina ekigambo kyayagala okumubuulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'ayita omu ku bakulu b'ebibinja by'abaserikale, n'amugamba nti: “Twala omuvubuka ono eri omukulu w'abaserikale, alina ky'ayagala okumubuulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'ayita omu ku baami n'amugamba nti Twala omulenzi ono eri omwami omukulu; kubanga alina ekigambo okumubuulira.