Acts 23:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Ananiya kabona omukulu n'alagira abaamuli okumpi okumukuba emimwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ananiya, kabona asinga obukulu, n'alagira abo abamuyimiridde okumpi okumukuba oluyi ku ttama
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ssaabakabona Ananiya n'alagira abo abaali okumpi ne Pawulo bamukube emimwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'alyoka amugamba nti Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?