Acts 23:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Abayudaaya bateesezza okukusaba oleete Pawulo mu lukiiko enkya, nga beefaananya ng'abaliko kye beetaaga okumwekkaanyaako okusingawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Abayudaaya bateesezza okukwegayirira okuleeta Pawulo enkya wansi mu lukiiko ng'agenda okwongera okumubuuza amazima g'ebigambo bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'agamba nti: “Abakulu b'Abayudaaya bateesezza okukusaba oserengese Pawulo mu lukiiko enkya, nga bali ng'abaagala okwongera okwetegereza ebimufaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Abayudaaya bateesezza okukwegayirira okuleeta Pawulo enkya wansi mu lukiiko ng'agenda okwongera okumubuuza amazima g'ebigambo bye.