Acts 23:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe tobakkiriza, kubanga waliwo abasajja amakumi ana n'okusoba abamuteeze; beerayiridde obutalya yadde okunywa nga tebannamutta. Era na kati beeteeseteese nga balindirira ky'onoosuubiza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ggwe tobakkiriza: kubanga abantu baabwe nga ana (40) bamuteeze nga berayiridde obutalya newakubadde okunywa ekintu kyonna wabula nga bamaze okumutta; nabo kaakano beeteeseteese nga balindirira ggwe okukkiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ggwe tobakkiriza, kubanga waliwo abasajja abasoba mu makumi ana, abajja okumuteega. Beerayiridde obutalya kantu konna wadde okunywa, nga tebannamutta. Era kaakano beeteeseteese, balindirira ky'onoogamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ggwe tobakkiriza: kubanga abantu baabwe bamuteeze okusinga amakumi ana abeekolimidde obutalya newakubadde okunywa wabula nga bamaze okumutta; nabo kaakano beeteeseteese nga balindirira ggwe okubasuubiza.