Acts 23:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu w'abaserikale n'asiibula omulenzi, nga bw'amukuutira nti: “Tobaako gw'ogamba nti kino okintegezezzaako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukulu w'abaserikale n'asiibula omulenzi, bwe yamala okumukuutira nti, “ Tobuulirako omuntu nti ombuulidde ebigambo bino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu w'abaserikale n'amusiibula, nga bw'amukuutira nti: “Tobaako omuntu n'omu gw'otegeeza nti ombuulidde ebigambo bino.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwami omukulu n'asiibula omulenzi, bwe yamala okumukuutira nti Tobuulirako omuntu ng'ombuulidde ebigambo bino.