Acts 23:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja ono Abayudaaya baamukwata; baali bagenda okumutta, ne mbasanga nga ndi n'abaserikale, bwe nategeera nga Muroma, ne mmuwonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja ono yakwatibwa Abayudaaya, bwe baali bagenda okumutta, ne ŋŋenda n'abasserikale gye baali ne mbamuggyako, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya baakwata omusajja oyo, era baali bagenda kumutta. Bwe nategeera nga Murooma, ne ŋŋenda n'abaserikale, ne mmubaggyako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu oyo bwe yamala okukwatibwa Abayudaaya, bwe baali bagenda okumutta, ne njija n'ekitongole gye baali ne mbamuggyako, bwe nnategeera nga Muruumi.