Acts 23:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nzuula nga bamuwawaabira lwa bigambo bya mateeka gaabwe, naye nga taliiko kimuwawaabirwa kimussisa, yadde kimusibisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba ng'aloopeddwa bya kubuuzibwa eby'omu mateeka gaabwe, naye nga tewali nsonga ya kumussa newakubadde okusibibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nzuula nti talina kye yakola kimusaanyiza kufa, wadde okusibibwa mu kkomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba ng'aloopeddwa bya kubuuzibwa eby'omu mateeka gaabwe, naye nga tewali nsonga ya kumussa newakubadde okusibibwa.