Acts 23:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'amugamba nti: “Naawe Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekimaale ennoni! Otudde okunnamula ng'osinziira mu Tteeka, ate n'olagira okunkuba, ekintu ekikontana n'Etteeka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'alyoka amugamba nti, “Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'agamba nti: “Ggwe ekisenge ekyasiigibwa erangi enjeru, Katonda alikukuba. Otudde okunnamula ng'osinziira mu mateeka, ate n'olagira okunkuba sso ng'amateeka gakigaana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'alyoka amugamba nti Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?