Acts 23:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe banzibiddeko ku lukwe lwe bamusalidde, kwe kumusindika gy'oli amangu ago. Ne ndagira abamuwawaabira bajje basimbe ensonga ze bamulinako w'oli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe bambuulira nti waliwo olukwe olw'okumutta, kwe kusalawo amangwago okumuweereza gy'oli; era ne ndagira abamuloopa okuleeta ensonga zaabwe gy'oli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nategeezebwa nti Abayudaaya baali bategese olukwe okumutta, ne nsalawo okumuweereza gy'oli. Ne ndagira abamuvunaana bajje bamuvunaanire mu maaso go.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bambuulira nti banaamusalira olukwe, amangu ago ne mmuweereza gy'oli; era ne ndagira abamuloopa okumuloopera mu maaso go.