Acts 23:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Ndikuwulira ng'abakuwawaabira bazze.” N'amulagira akuumirwe mu Purayitoriyo ya Erode.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba nti, “ Ndikuwuliriza abakuloopa bwe baliba bazze.” N'alagira okumukuumira mu lubiri lwa Kerode.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amugamba nti: “Omusango gwo ndiguwulira abakuvunaana nga bazze.” N'alagira, Pawulo akuumirwe mu lubiri lwa Herode.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba nti Ndikuwulira abakuloopa bwe balibaawo nabo: n'alagira okumukuumira mu nnyumba ya Kerode.