Acts 23:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'abagamba nti: “Abooluganda, mbadde simanyi nga ye kabona omukulu; kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Toyogeranga bubi ku mufuzi w'abantu bo?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'agamba nti, “Mbadde simumanyi, ab'oluganda, nga ye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwa nti, ‘ toyogeranga bubi ku mukulu w'abantu bo.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'agamba nti: “Abooluganda, mbadde simanyi nga ye Ssaabakabona, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: ‘Toyogeranga bubi ku mukulu wa ggwanga lyo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'agamba nti Mbadde simumanyi, ab'oluganda, nga ye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwa nti Toyogeranga bubi ku mukulu w'abantu bo.