Acts 23:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu kya Basaddukaayo ate ekirala kya Bafarisaayo, n'ayogera n'eddoboozi ddene mu lukiiko nti: “Abooluganda, nze ndi Mufarisaayo, omwana w'Abafarisaayo; mpozesebwa olw'ensonga y'okusuubira n'okuzuukira kw'abafu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu ky'Abasaddukaayo n'eky'okubiri ky'Abafalisaayo, n'ayogerera waggulu mu lukiiko nti, “ Ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo, mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'essuubi n'okuzuukira kw'abafu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo bwe yamanya ng'abali mu lukiiko, abamu Basaddukaayo, abalala nga Bafarisaayo, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Abooluganda, nze ndi Mufarisaayo, mwana w'Abafarisaayo. Mpozesebwa lwa kubanga nnina essuubi ery'okuzuukira kw'abafu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu kya Basaddukaayo n'eky'okubiri kya Bafalisaayo, n'ayogerera waggulu mu lukiiko nti Abasajja ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'essuubi n'okuzuukira kw'abafu.