Acts 23:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yasirissa ebyo, ne wasituka empaka wakati w'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo; ekibiina ne kyesalamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yayogera bw'atyo ne wabaawo okuyomba wakati w'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo, ekibiina ne kyawukanamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yayogera ekyo, ne wasitukawo empaka wakati w'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo. Olukiiko ne lwesalamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yayogera bw'atyo ne wabaawo okuyomba Abafalisaayo n'Abasaddukaayo, ekibiina ne kyawukanamu.