Acts 23:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wabaawo oluyoogaano lunene. Abamu ku bawandiisi b'ekibiina ky'Abafarisaayo ne bayimirira, ne bawakana nga bagamba nti: “Tetulaba nsobi mu muntu ono; oboolyawo mwoyo gwe gwayogedde naye, oba malayika?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne wabaawo okukaayana kungi: abawandiisi abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bayimirira ne bawakana nga bagamba nti, “Tetulaba kibi ku muntu ono: era kinaaba kitya oba omwoyo oba nga malayika yayogera naye?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo okuyoogaana kungi, era abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo ne bayimirira, ne bawakana n'amaanyi nga bagamba nti: “Tetulaba kibi ku muntu ono. Kyandiba nga malayika oba omwoyo, gwe gwogedde naye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wabaawo okukaayana kungi: abawandiisi abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bayimirira ne bawakana nga bagamba nti Tetulaba kibi ku muntu ono: era kinaaba kitya oba ng'omuzimu gwe gwogedde naye oba malayika?