Acts 24:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe waayitawo ennaku ttaano, kabona omukulu n'aserengeta n'abakadde abamu, ne munnamateeka omu Terutullo. Ne bayanjulira owessaza ensonga zaabwe ku Pawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’atuuka mu Kayisaliya ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya era ng’aleese n’omwogezi omulungi erinnya lye Terutuulo, eyannyonnyola gavana emisango egyali givunaanibwa Pawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, kabona asinga obukulu n'atuuka e Kayisaliya ng'ali wamu n'abakadde abamu n'omuntu omwogezi erinnya lye Terutuulo: abo ne babuulira owessaza ebigambo ebivunaanibwa Pawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ennaku ttaano, Ssaabakabona Ananiya n'agenda n'abamu ku bantu abakulu mu ggwanga, ne munnamateeka omu ayitibwa Terutuulo, ne bawawaabira Pawulo eri omufuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku bwe zaayitawo ettaano, kabona asinga obukulu Ananiya n'aserengeta n'abakadde abamu n'omuntu omwogezi Terutuulo: abo ne babuulira owessaza ebigambo Pawulo bye yaloopebwa.