Acts 24:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owessaza bwe yamutemyako okwogera, n'agamba nti: “Kubanga mmanyi ng'omaze emyaka mingi ng'olamula eggwanga lino, nzija kwewolereza nga ndi musanyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana n’amuwenya asituke ayogere. Pawulo n’ayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bw’osaze emisango egifa ku nsonga zaffe ez’Ekiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo owessaza bwe yawenya ku Pawulo okwogera, Pawulo n'addamu nti: “Kubanga mmanyi ng'osaze emisango gye ggwanga lino okumala emyaka mingi, ŋŋenda okuwoza n'omwoyo omugumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo, omufuzi bwe yamuwenya okwogera, n'agamba nti: “Ssebo mmanyi ng'omaze emyaka mingi ng'olamula abantu b'eggwanga lino. Njija kuwoza n'obuvumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo owessaza bwe yamuwenya okwogera, Pawulo n'addamu nti Kubanga mmanyi ng'oli mulamuzi wa ggwanga lino okuva mu myaka mingi, nkuwoleza ebigambo byange n'omwoyo omugumu;