Acts 24:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kino kye nkukakasaamu, nti Ekkubo, bo lye bayita ekibiina ekijeemu, mwe mpeerereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna nga bwe biri mu Tteeka oba nga bwe byawandiikibwa mu Balanzi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kino nkyatula w'oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita Enzikiriza, bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula njatula kino mu maaso go nti nsinza Katonda wa bajjajjaffe, nga ngoberera Ekkubo bo lye bayita ekkyamu. Era nzikiriza ebyo byonna ebiri mu Mateeka ga Musa, n'ebyawandiikibwa abalanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kino nkyatula w'oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita enzikiriza, bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi;