Acts 24:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'essuubi lye nnina mu Katonda nabo lye balina nti abatuukirivu n'abatali batuukirivu balizuukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’ababi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnina essuubi mu Katonda nabo bennyini lye balina nti abalungi n'ababi balizuukira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu.