Acts 24:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayiseewo emyaka, najja okuleetera eggwanga lyange obuyambi n'ebitone.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ng’Abayudaaya mbaleetedde n’ensimbi ez’okubayamba, nga nange neeretedde ekirabo eky’okuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo emyaka mingi bwe gyayitawo ne njija okuleeta eby'abaavu eri eggwanga lyaffe n'ebiweebwayo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe waayitawo emyaka mingi, ne ŋŋenda mu Yerusaalemu okutwalira abaavu ab'omu ggwanga lyange eby'okubayamba, n'okuwaayo ebirabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo emyaka mingi bwe gyayitawo ne njija okuleeta eby'abaavu eri eggwanga lyaffe n'ebiweebwayo: