Acts 24:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo kye nali nkola we bansangira mu Kiggwa nga neetukuza, tewaali kibiina yadde akajagalalo, wabula Abayudaaya abamu ab'omu Aziya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe nnali mu ebyo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya ne bansanga mu Yeekaalu nga ntukuzibwa, nga sirina kibiina newakubadde oluyoogaano,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nga nkola ebyo ne bansanga mu Ssinzizo, nga mmaze okukola omukolo ogw'okutukuzibwa. Saalina kibiina kya bantu, era tewaaliwo luyoogaano. Kyokka waaliwo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe nnali mu ebyo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya ne bansanga mu yeekaalu nga ntukuzibwa, nga sirina kibiina newakubadde oluyoogaano;