Acts 24:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yayitibwa, Teritullo n'atandika okumuwawaabira, n'agamba nti: “Tufunye emirembe mingi olw'okubeera ggwe, era mu bantu bo bingi biruŋŋamye olw'obulabalaba bwo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n’ayitibwa ategeeze ekivunaanibwa Pawulo, n’awoza bw’ati nti, “Oweekitiibwa, ffe Abayudaaya otuwadde eddembe, n’enkulaakulana olw’amagezi go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n'atandika okumuloopa ng'agamba nti: “Oweekitibwa Ferikisi, tufunye emirembe mingi eri ggwe, n'ebintu bingi ebirongooseddwa mu ggwanga lino olw'obufuzi bwo obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atandika okumulumiriza bw'ati: “Oweekitiibwa ennyo Felikisi, obukulembeze bwo obw'amagezi butuleetedde obutebenkevu, era buluŋŋamizza ebintu bingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atanula okumuloopa ng'agamba nti Kubanga twali tufunye emirembo mingi eri ggwe, n'ebigambo ebibi nga birongoosebbwa mu ggwanga lino olw'okulabirira kwo,