Acts 24:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula mpozzi ekigambo kino kye naleekaana nga mbayimiriddemu wakati, nti: ‘Olw'ensonga y'okuzuukira kw'abafu kyenvudde nnyimirira wano mu maaso gammwe okuwozesebwa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mpozzi kino kyokka kye n'ayogera nti, ‘ Olw'okubanga nzikiririza mu kuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango mu maaso gammwe ku lunaku luno.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okuggyako kino ekimu kyokka kye nayogera nga nnyimiridde mu bo nti: ‘Mumpozesa olwaleero, olw'okwogera ku kuzuukira kw'abafu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
wabula olw'eddoboozi lino erimu lye nnayogerera waggulu, nga nnyimiridde mu bo, nti Olw'okuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango gye muli ku lunaku luno.
Recommended Reading