Acts 24:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Felikisi eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n'agira ng'abayimiriza ng'agamba nti: “Lisiya omukulu w'abaserikale bw'alijja eno, ndiwa ensala yange ku nsonga zammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n’agamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi w’abaserikale mu Yerusaalemi, bw’alituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Ferikisi, kubanga ye yali abasinga okumanya ebigambo eby'Ekkubo, n'abalwisaawo ng'agamba nti, “Lusiya, omukulu w'abasserikale bwalijja ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kubanga Felikisi yali amanyi eby'Ekkubo eryo, n'ayimiriza omusango ng'agamba nti: “Lukiya omukulu w'abaserikale bw'alijja, ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Ferikisi, kubanga ye yali abasinga okumanya ebigambo eby'Ekkubo, n'abalwisaawo ng'agamba nti bw'aliserengeta Lusiya omwami omukulu, ndisala omusango gw'ebigambo byammwe.