Acts 24:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alagira senturiyo okumukuuma, wabula ng'alekerwa eddembe, n'obutaziyiza n'omu ku babe kujja kumulabirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alagira Pawulo azzibweyo mu kkomera akuumibwe, naye ng’alekerwamu ku ddembe, ne mikwano gye bakkirizibwe okujjanga okumulaba n’okumuleetera bye yeetaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alagira omwami n'okumuzaayo mu kkomera naye ng'amulekedde eddembe, n'obutaziyiza muntu yenna ku mikwano gye okumuweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alagira omukulu w'ekibinja ky'abaserikale okukuuma Pawulo nga musibe, wabula ng'alekerwa eddembe era nga tewali mukwano gwe n'omu aziyizibwa kumuweereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alagira omwami okumukuuma n'okumuwa ebbanga; n'obutaziyiza muntu yenna ku mikwano gye, okumuweereza.