Acts 24:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe yatandika okwogera ku butuukirivu, ku kwetangira ne ku kulamulibwa okujja, Felikisi ne yeekanga, n'agamba nti: “Kaakano ogira ogenda; bwe ndifuna akadde, ndikutumira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, n’okwefuga mu bikolwa, n’okusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi n’atya nnyo, n’agamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali ng'ategeeza eby'obutuukirivu, n'eby'okwegendereza, n'eby'omusango ogugenda okujja, Ferikisi n'atya n'addamu nti Genda kaakano; bwe ndiba n'ebbanga, ndikuyita.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Pawulo bwe yali ng'annyonnyola ku butuukirivu ne ku muntu okwefuga, ne ku lunaku Katonda lw'agenda okusalirako omusango, Felikisi n'atya, n'agamba nti: “Kaakano genda, bwe ndifuna ebbanga ndikuyita.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'ateeza eby’obubutuukirivu, n'eby'okwegendereza, n'eby'omusango ogugenda okujja, Ferikisi n'atya n'addamu nti Genda kaakano; bwe ndiba n’ebbanga, ndikuyita.