Acts 24:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali mu kaseera ke kamu asuubira nga Pawulo anaamuwa ku ssente, kyeyavanga amutumya olunye, n'anyumya naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi n’ayogera naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era yali asuubira Pawulo okumuwa sente, kyeyavanga amutumyanga emirundi mingi naanyumyanga naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era muli yali asuubira nti Pawulo anaabaako ky'amuwa. Kyeyavanga amuyita emirundi emingi anyumye naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'asuubira Pawulo okumuwa ebintu: kyeyava yeeyongeranga okumutumiranga okunyumyanga naye.