Acts 24:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyaka ebiri bwe gyayitawo, Felikisi n'asikirwa Porikiyo Festo; Felikisi olw'okwagala okusanyusa Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olw’okwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda n’aleka nga Pawulo musibe mu kkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe waayitawo emyaka ebiri, Ferikisi n'asikirwa Polukiyo Fesuto. Ferikisi olw'okwagala okusiimibwa Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe mu kkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo emyaka ebiri, Porukiyo Festo n'atwala obukulu bwa Felikisi. Felikisi oyo olw'okwagala asiimibwe Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe waayitiwo emkyaka ebiri, obwa Ferikisi ne buweebwa Polukiyo Fesuto; Ferikisi bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n’aleka Pawulo nga musibe.