Acts 24:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tusanze omusajja oyo nga kawumpuli mulamba, omuleesi w'obwegugungo mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, era lukulwe w'ekibiina ekijeemu ekya Banazireewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja ono tumulabye nga wa mutawaana nnyo, kubanga akuma omuliro mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, basasamale era bajeemere gavumenti y’Abaruumi, omukulembeze mu ttabi ly’eddiini erimanyiddwa ng’ery’Abannazaalaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tulabye omusajja ono nga wamutawaana nnyo, ajeemesa Abayudaaya bonna abali mu nsi zonna, ate era ye mukulu w'ekibiina ky'Abanazaaleesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja ono twamuzuula nga muntu wa mutawaana. Ajeemesa Abayudaaya abali mu buli kifo, era ye mukulembeze w'ekibiina kya Banazaareeti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga twalaba omuntu ono nga mubi nnyo, ajeemesa Abayudaaya bonna abali mu nsi zonna, era ye mukulu w'ekitundu ky'Abanazaaleesi: