Acts 25:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'agamba nti: “Nnyimiridde mu maaso g'entebe y'obulamuzi eya Kayisari we nnina okuwozesebwa. Abayudaaya sibasobyanga, nga naawe bw'omanyidde ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo n’addamu nti, “Kaakano nyimiridde mu maaso g’embuga ya Kayisaali era we nteekwa okuwozesebwa. Naawe omanyidde ddala bulungi nga bwe sirina musango gwonna gwe nazza ku Bayudaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Pawulo n'agamba nti, “Nnyimiridde awali entebe esalirwako emisango eya Kayisaali, we ŋŋwanidde okusalirwa omusango: siyonoonanga eri Abayudaaya, era nga naawe bw'otegeerera ddala obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'agamba nti: “Nnyimiridde mu maaso g'entebe ya Kayisaari ey'obulamuzi, era we nteekwa okuwozesebwa. Sirina kintu na kimu kye nasobya ku Bayudaaya, nga naawe bw'omanyidde ddala obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Pawulo n'agamba nti Nnyimiridde awali entebe esalirwako emisango eya Kayisaali, we ŋŋwanidde okusalirwa omusango: siyonoonanga eri Abayudaaya, era nga naawe bw'otegeerera ddala obulungi.