Acts 25:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga nasobya, obanga nnina kye nakola ekiŋŋwanyiza okufa, kale sigaana kufa. Naye obanga bano bye banvunaana temuli kantu, mpaawo muntu anampaayo gye bali. Njulidde Kayisari.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obanga waliwo omusango gwe nazza, ne gunsaanyiza okufa, nange sigaana kufa! Naye obanga siriiko musango, ng’emisango gyonna Abayudaaya bano gye bankakaatikako gya bulimba bwereere, ggwe tolina kw’osinziira wadde omuntu omulala yenna, okumpaayo gye bali okunzita. Njulidde eri Kayisaali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale oba nga nnayonoona era nga nnakola ekigambo ekisaanidde okunzisa, sigaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, tewali muntu ayinza okumpaayo mu bo. Njulidde eri Kayisaali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba nga namenya etteeka, ne nkola ekintu ekinsaanyiza okuweebwa ekibonerezo eky'okuttibwa, sigaana kufa. Naye oba nga bye bannumiriza si bya mazima, tewali ayinza kumpaayo gye bali. Njulidde Kayisaari.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale oba nga nnayonoona era nga nnakola ekigambo ekisaanidde okunzisa, sigaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, tewali muntu ayinza okumpaayo mu bo. Njulira Kayisaali.