Acts 25:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bamazeeyo ennaku nnyingiko, Festo n'ayanjulira kabaka ensonga za Pawulo, n'agamba nti: “Wano waliwo omusajja Felikisi gwe yaleka mu kkomera nga musibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku bugenyi baamalako ennaku nnyingi, era mu bbanga eryo Fesuto n’ategeeza kabaka eby’omusango gwa Pawulo. N’amugamba nti, “Waliwo omusajja wano Ferikisi gwe yaleka mu kkomera nga musibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamalayo ennaku nnyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'agamba nti, “Waliwo omuntu Ferikisi gwe yaleka nga musibe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamalayo ennaku eziwera, Festo n'ayogera ku Pawulo, n'agamba nti: “Wano waliwo omusajja, Felikisi gwe yaleka nga musibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamalayo ennaku nnyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'agamba nti Waliwo omuntu Ferikisi gwe yaleka nga musibe: