Acts 25:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nali e Yeruzaalemu, bakabona abakulu n'abakadde ab'Abayudaaya bambuulira ku ye, ne banneegayirira okumusalira omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe nnali mu Yerusaalemi, bakabona ne bantegeeza emisango gye baali bamuvunaana, ne bansaba musalire omusango gumusinge era abonerezebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakadde b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga baagala okumusalira omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nagenda e Yerusaalemu, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga ly'Abayudaaya ne bamulumiriza, ne basaba mmusalire omusango okumusinga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakadde b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga baagala okumusalira omusango.