Acts 25:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbaddamu nti eyo si mpisa ya Baroma okuwaayo oli ng'omuwawaabirwa tannasisinkana maaso ku maaso n'abamuwawaabira, era nga tannaweebwa mukisa kwewozaako ku ebyo ebimuwawaabirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ne mbannyonnyola nti mu mateeka g’Ekiruumi, omuntu tasalirwa musango kumusinga nga tamaze kuwozesebwa n’aweebwa omukisa okuwoza n’abamuwawaabira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbaddamu nti, ‘Si mpisa ya Baruumi okuwaayo omuntu abamuvunaana nga tebannaba kubaawo mu maaso ge, era nga tannaweebwa bbanga lya kuwoza bye bamuvunaana.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ne mbaddamu nti: ‘Si mpisa y'Abarooma okusalira omuntu omusango okumusinga, nga tannasisinkana na bamuwawaabira, n'asobola okwerwanako mu musango gwe bamuvunaana.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbaddamu nti Si mpisa ya Baruumi okuwaayo omuntu abamuvunaana nga tebannaba kubaawo mu maaso ge, era nga tannaweebwa bbanga lya kuwoza bye bamuvunaana.