Acts 25:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baakuŋŋaanira wano, saabandaala, ku lunaku olwaddako, ne ntuula ku ntebe y'obulamuzi, ne ndagira omusajja bamuleete.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe bajja wano okuwoza omusango ogwo, enkeera ne mpita Pawulo n’ajja mu mbuga z’amateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baakuŋŋaanira wano, saalwa n'akatono, naye ku lunaku olwokubiri ne ntuula ku ntebe esalirwako emisango ne ndagira okuleeta omusajja oyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“N'olwekyo bwe bajja wano, ssaalwa. Ku lunaku olwaddirira, ne ntuula mu ntebe ey'obulamuzi, ne ndagira baleete omusajja oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baakuŋŋaanira wano, saalwa n'akatono, naye ku lunaku olw'okubiri ne ntuula ku ntebe esalirwako emisango ne ndagira okuleeta omusajja oyo.