Acts 25:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze bwe nasoberwa ku ngeri y'okubuulirizaamu ku bino, ne mmubuuza obanga akkiriza okugenda e Yeruzaalemu n'okuwozesebwa eyo ku ebyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo ne binnemesa. Kwe ku mubuuza obanga yandyagadde emisango egyo okugiwoleza mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange bwe nnabulwa bwe nnaakebera ebyo, ne mmubuuza ng'ayagala okugenda e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe nasoberwa ku bigambo ebyo, ne mmubuuza oba ng'ayagala okugenda e Yerusaalemu awoleze eyo emisango egyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange bwe nnabulwa bwe nnaakebera ebyo, ne mmubuuza ng'ayagala okugenda e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino.