Acts 25:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, Agrippa ne Berunike, ne bajja mu kitiibwa kinene, ne bayingira mu masengere nga bali n'abakulu b'abaserikale n'abakulu b'ekibuga. Festo n'alagira ne baleeta Pawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwaddirira Agulipa ne Berenike ne bayingira n’ekitiibwa kinene nnyo mu kisenge ekinene we batuukira, nga bawerekerwako abaserikale n’abantu abatutumufu mu kibuga. Fesuto n’alagira ne baleeta Pawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwokubiri Agulipa ne Berenike bwe bajja n'ekitiibwa ekinene era bwe baayingira mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera Agripa ne Berunike ne bajjira mu kitiibwa kinene, ne bayingira mu kifo awasalirwa emisango, nga bali wamu n'abakulu b'abaserikale n'abantu abeekitiibwa mu kibuga ekyo. Festo n'alagira, Pawulo n'aleetebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'okubiri Agulipa ne Berenike bwe bajja n'ekitiibwa ekinene era bwe baayingira mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa.