Acts 25:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Festo n'agamba nti: “Agrippa Kabaka, nammwe mwenna abasajja abakuŋŋaanye wano naffe, omusajja ono mumulabye, Abayudaaya bonna gwe bansaba e Yeruzaalemu na wano, nga baleekaana nti tasaanye kusigala nga mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Fesuto n’alyoka agamba nti, “Kabaka Agulipa, nammwe mwenna abali wano ono ye musajja, Abayudaaya aba kuno n’abo ab’omu Yerusaalemi, gwe bansabye attibwe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Fesuto n'agamba nti, “ Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky'Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Festo n'agamba nti: “Kabaka Agripa, era nammwe mwenna abali naffe wano, mulaba omusajja ono, Abayudaaya bonna gwe bansaba mu Yerusaalemu ne wano, nga baleekaana nti: ‘Tasaana kuba mulamu!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Fesuto n'agamba nti Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky'Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate.