Acts 25:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala nabo ennaku ezitasssuka munaana oba kkumi, n'akkirira nabo e Kayisariya. Ku lunaku olwaddako, n'atuula ku ntebe y'obulamuzi, n'alagira Pawulo aleetebwe
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ennaku nga munaana oba kkumi, Fesuto n’aserengeta mu Kayisaliya, era bwe yatuuka, enkeera n’alagira Pawulo aleetebwe mu mbuga z’amateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olwokubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Festo bwe yamala nabo ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaariya. Olunaku olwaddirira, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi, n'alagira baleete Pawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamalayo ewaabwe ennaku ezitaasingawo munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olw'okubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo.