Acts 25:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuuka, Abayudaaya abaali bavudde e Yeruzaalemu, ne bamwebungulula nga bamuvunaana ensonga nnyingi ate ennene, naye nga tebasobola kuzikakasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy’amaanyi bamuvunaane kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu bwagyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy'amaanyi okumuvunaana, kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu ku gyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemu ne bayimirira nga bamwetoolodde, ne bamulumiriza emisango mingi era eminene, gye bataasobola kukakasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bayimirira okumwetooloola, nga baleeta ebimuvunaanwa bingi era ebizibu, bye bataayinza kulumiriza;