Acts 25:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Festo n'ayagala okusanyusa Abayudaaya, n'agamba Pawulo nti: “Okkiriza okwambuka e Yeruzaalemu owozesebwe eyo ku ebyo mu maaso gange?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Fesuto, olw’okwagala okusanyusa Abayudaaya, n’abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi gy’oba owoleza emisango gino mu maaso gange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Fesuto, olw'okwagala okusanyusa Abayudaaya, n'abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maaso gange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Festo olw'okwagala okusiimibwa Abayudaaya, n'agamba Pawulo nti: “Oyagala okugenda e Yerusaalemu owozesebwe eyo emisango gino mu maaso gange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Fesuto, bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n'addamu eri Pawulo n'agamba nti Oyagala okugenda e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maaso gange?