Acts 26:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo nakikola e Yeruzaalemu, ne nzisa bangi abatuukirivu mu kkomera n'obuyinza okuva eri bakabona abakulu. Ate bwe baabanga battibwa, nange nga nkisemba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo ne mbikola ne mu Yerusaalemi era ne nsiba abatuukirivu bangi mu makomera, era ne mpeebwa n’obuyinza okuva eri bakabona abakulu; abatukuvu ne bwe battibwanga, nga nkiwagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okukola ne nkolanga bwe ntyo e Yerusaalemi: nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe nnaweebwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu, era bwe battibwa, ne nzikiriza okubatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekyo kye nakola mu Yerusaalemu. Nafuna obuyinza okuva eri bakabona abakulu, ne nteeka abakkiriza bangi mu kkomera, era bwe baasalirwanga emisango egy'okuttibwa, nange nasiimanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okukola ne nkolanga bwe ntyo e Yerusaalemi nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe nnaweebwa obuyinza eri bakabona abakulu, era bwe battibwa, ne nzikiriza okubatta.