Acts 26:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nababonerezanga mu sinaagooga zonna emirundi mingi, ne mbawaliriza okuvuma Katonda, ate bwe neeyongera okubakwatirwa obusungu, ne mbayigganya ne mu bibuga eby'ebweru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mu makuŋŋaaniro gonna wonna ne mbasindiikirizanga nga mbawalirizanga okuvvoola, ne mbasunguwaliranga nnyo, ne mbayigganyanga okutuuka ne mu bibuga eby’ewala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe nnababonerezanga emirundi mingi mu makuŋŋaaniro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuuka mu bibuga eby'ebweru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirundi mingi nababonerezanga mu makuŋŋaaniro gonna, nga mbawaliriza beegaane enzikiriza yaabwe. Ate bwe neeyongera okubasunguwalira, ne mbayigganyanga ne mu bibuga eby'ebweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe nnababonerezanga emirundi mingi mu makuŋŋaaniro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuukai mu bibuga eby'ebweru.