Acts 26:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffenna ne tugwa ku ttaka; ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba mu Lwebureeyi nti: ‘Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya? Ozibuwalirwa okusamba ekikato?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffenna bwe twagwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? Weerumya wekka bw’osamba ku nkato.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne tugwa fenna wansi ne mpulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi Olwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffenna ne tugwa wansi. Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba mu lulimi Olwebureeyi nti: ‘Sawulo, Sawulo! Lwaki onjigganya? Kirumya ggwe okusamba ku miwunda.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne tugwa fenna wansi ne mpulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi Olwebbulaniya nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda.