Acts 26:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale golokoka, oyimirire ku bigere byo, kubanga nkulabikidde lwa nsonga eno, nkufuule omubaka n'omujulirwa w'ebyo by'olabye n'ebyo bye nnaakulaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye golokoka. Nkulabikidde, nkulonde obeere omuweereza wange era omujulirwa w’ebyo mw’ondabidde era ow’ebyo mwe nnaakulabikiranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye golokoka, oyimirire ku bigere byo: kyenvudde nkulabikira, nkulonde obeerenga omuweereza era omujulirwa w'ebyo mw'ondabidde era ow'ebyo mwe nnaakulabikiranga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka golokoka oyimirire. Nkulabikidde ndyoke nkufuule omuweereza wange, akakasa ebyo mw'ondabidde, n'ebyo mwe nnaakulabikiranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye golokoka, oyimirire ku bigere byo: kyenvudde nkulabikira, nkulonde obeerenga omuweereza era omujulirwa w'ebyo mw'ondabidde era ow'ebyo mwe nnaakulabikiranga,