Acts 26:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nasooka kuyigiriza ba mu Damasiko, ne nzizaako ab'omu Yeruzaalemu, ne mu Buyudaaya wonna, ne mu b'amawanga, babonerere, badde eri Katonda nga bakola ebikolwa ebigya mu kubonerera kwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ne nsookera ku b’omu Damasiko, ne nzizaako ab’omu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna, n’eri Abaamawanga, nga mbategeeza beenenye bakyukire Katonda, era bakolenga ebikolwa eby’okwenenya ebisaanira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye nnasooka okubuulira ab'omu Ddamasiko ne mu Yerusaalemi, era n'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'amawanga okwenenya n'okukyukira Katonda, nga bakolanga ebikolwa ebisaanidde okwenenya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nasookera ku b'omu Damasiko, nzuuyo ku b'omu Yerusaalemu, ne ku b'omu Buyudaaya bwonna ne ku b'amawanga amalala, ne mbategeeza beenenye, badde eri Katonda, era bakole ebikolwa ebiraga nti beenenyezza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nnasooka okubuulira ab'omu Ddamasiko ne mu Yerusaalemi, era n'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'amawanga okwenenya n'okukyukira Katonda, nga bakolonga ebikolwa ebisaanidde okwenenya.