Acts 26:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Katonda yambeera n'okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe ntyo nkyayigiriza bonna, omuto n'omukulu, nga sibabuulira kirala wabula ebyo abalanzi ne Musa bye baagamba nti birituukirira:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri ab’ekitiibwa era n’aba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Katonda ankuumye okutuusa ku lunaku lwaleero, era nnyimiridde nga ntegeeza abakulu n'abato ebyo byennyini abalanzi ne Musa bye baayogera nti bigenda kubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja;